Jeremiah 49:7-22

Obubaka obukwata ku Edomu

7 aBw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,

“Tewakyali magezi mu Temani?
Abeegendereza babuliddwa okutegeera?
Amagezi gaabwe gaweddemu ensa?
8 bMukyuke mudduke mwekweke mu mpuku eziri ewala
mmwe abatuuze b’e Dedani,
kubanga ndireeta ekikangabwa ku Esawu,
mu kiseera bwe ndimubonerereza.
9Abanozi b’emizabbibu singa bazze gy’oli,
tebandikuleseeko mizabbibu mibale bubazi?
Singa ababbi bazze ekiro,
tebandibbye byonna bye beetaaga?
10 cNaye ndyambula Esawu mwerule;
ndizuula ebifo bye mwe yeekweka,
aleme kwekweka.
Abaana be, n’ab’eŋŋanda ze n’ab’omuliraano baakuzikirira,
era wa kuggwaawo.
11 dBamulekwa mu mmwe mubaleke, ndibalabirira.
Ne bannamwandu mu mmwe banneesige.”
12 eBw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Obanga abo abatandinywedde ku kikompe bawaliriziddwa okukinywako, lwaki mmwe temubonerezebwa? Temuuleme kubonerezebwa, mulina okukinywa. 13 fNeerayirira,” bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Bozula alifuuka matongo era ekibuga ekijjudde entiisa, ekinyoomebwa era ekikolimire, era ebibuga bye byonna biriba matongo emirembe gyonna.”

14Mpulidde obubaka okuva eri Mukama Katonda.
Omubaka yatumibwa eri amawanga okugamba nti,
“Mwekuŋŋaanye mukirumbe!
Mugolokoke mukole olutalo!”

15“Kaakano ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga,
abanyoomebwa mu bantu.
16 gEntiisa gy’oleeta
n’amalala g’omutima gwo bikulimbye,
mmwe ababeera mu bunnya bw’amayinja,
mmwe ababeera waggulu mu nsozi.
Wadde nga muzimba ebisu byammwe okubeera waggulu nga eby’empungu,
ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”
bw’ayogera Mukama Katonda.
17 h“Edomu kirifuuka kyerolerwa,
abo bonna abayitawo balyewuunya batye
olw’ebiwundu bye byonna.
18 iNga Sodomu ne Ggomola bwe byayonoonebwa,
wamu n’ebibuga ebirala ebiriraanyeewo,” bw’ayogera Mukama Katonda,
“tewaliba n’omu abibeeramu;
tewali musajja alikituulamu.

19 j“Ng’empologoma eva mu bisaka by’omu Yoludaani
okugenda mu muddo omugimu,
ndigoba Edomu mu nsi ye amangu n’embiro.
Ani oyo omulonde gwe nnaateekawo akole kino?
Ani ali nga nze era ani ayinza okunsomooza?
Era musumba wa ndiga ki ayinza okunjolekera?”
20 kNoolwekyo, muwulire Mukama Katonda kyategese okuleeta ku Edomu,
kyategekedde abo abatuula mu Temani.
Endiga ento mu bisibo za kuwalulwa,
alyonoonera ddala ebisibo byazo ku lwabwe.
21 lBwe baligwa ensi erikankana,
emiranga gyabwe giriwulirwa mu Nnyanja Emyufu.
22 mLaba, alibuuka mu bire ng’empungu n’atumbiira,
n’alyoka akka ng’ayanjululiza ebiwaawaatiro bye ku Bozula.
Ku lunaku olwo emitima gy’abalwanyi ba Edomu
giribeewanika ng’ogw’omukazi alumwa okuzaala.
Copyright information for LugEEEE